Abalonzi ba NRM obukadde 19 :Waliwo abakubye ebituli mu muwendo
Ab’oludda oluvuganya bakubye ebituli mu muwendo gw’abalonzi abasoba mu bukadde 19 ogwayanjuddwa ekibiina ki NRM olunaku lw’eggulo.
Abavuganya gavumenti bagamba nti aba NRM bandiba nga baaduumudde omuwendo guno n’ekigendererwa ekyokwenyigira mu mivuyo gy’obululu naddala mu kiseera ky’akalulu ka 2026.
Kyokka abakulu mu NRM, bagamba ab’oludda oluvuganya bandiba nga boogeza nsaalwa olw’obuganzi ekibiina ki NRM bwekyeyongera okufuna mu bannaUganda