Abalwanirizi b’eddembe baagala bannansi bawakanye okuwozesebwa mu kkooti y’amagye
Waliwo abalwanirizi b'eddembe abakunze bannansi okuvaayo okwongera eddoboozi okuwakanya ekyabantu babulijjo okuwozesebwa mu kkooti y'amagye . Bano bagamba nti bannansi bwe basirika, kijja kuwa ebbeetu ebikolwa ebbimenya ssemateeka okweyongera nga teri akuba ku Mukono . Bano basinziidde ku kya Kkooti y'amagye e Makindye okusiba munnamateeka Eron Kiiza mu nkomyo nga tebamuwadde yadde omwagaanya okwewozaako.