Abayeekera ba M23 boolekedde kibuga Kinshasa
Agava mu ggwanga li congo galaga ng’abayeekera ba M23 bwebakakasiza nti ekigendererwa kyabwe kya kuwamba ggwanga lyonna sosi kibuga Goma kyokka nga bwekibadde kisuubirwa. Omuduumizi omukulu owa M23 Cornielle Nangaa era nga yakulirako akakiiko ke byokulonda akeggwanga lino abuulidde bannamawulire nti effuga bbi, n’ettemu mu ggwanga lino byebimu ku bibasindiikiriza okusalawo okwetaba mu kutereeza eggwanga lyabwe. Tukitegedde nti abanti abasoba mu 700 bebakafiira mu kulwanagana kuno okwatandika ku ntandikwa yomwaka guno.