Abazannya ekigwo ky’omukasooto bafunye ‘ring’ enzungu ne bawaga
Bannayuganda abaatandikawo ekigwo ekizungu kye baatuuma soft ground wrestling olw’okubanga bakizannyira mu ttaka erigonda oba ettosi, kyaddaaki baafunye RING ey’omulembe omuzannyirwa egigwo guno. Olunaku lw’eggulo lwe baasoose okulwanira ku RING eno ku kitebe kyabwe ekisangibwa mu Kirangira e Mukono. Kati baagala kutandika kutambuza muzannyo guno okwetooloola eggwanga lyonna nga balaga ebitone byabwe. PATRICK SSENYONDO yabaddeyo okutuwa emboozi eno.