Alex Kayiwa eyali abuziddwawo e Kireka amaze n’ateebwa
Onojjukira nti mu mwezi ogw’omusanvu omwaka guno twakulaga emboozi y’omuvubuka Alex Kayiwa ab’enganda ze gwa baali bagamba nti yawambibwa abebyokwerinda.
Mu kiseera ekyo ensonga baali baziwaabye ku Poliiisi wabula nga baali bakyalemereddwa okuzuula omayitire g’omuntu waabwe Kitegeerekese nti Kayiwa ono abadde mu mikono gya ba byakwerinda era yateereddwa ku lwokubiri lwa wiiki eno. Ono alumiriza nti yatulugunyizibwa era ateekateeka kugenda mu kkooti awawabire beekikwatako.