AMABAATI G’E KARAMOJA :Joshua Abaho asindikiddwa Luzira
Joshua Abaho nga muyambi wa Minisita w'ensonga z'e Karamoja asindikiddwa u alimanda mu Kkomera e Luzira . Ono kiddiridde okuggulwako emisango egyekuusa ku kubulankanya amabaati ge Karamoja era nga wakugira akuumibw ae Luzira okutuusa lwanadda mu kkooti okuwulira okusaba kwokweyimirirwa . ,Abaho abadde aleese n'abantu bataano ab'okumweyimirira . Minisita Kitutu n'owoluganda lwe Naboya Kitutu nabo olwaleero balabiseeko mu kkooti okuddamu okubasomera emisango . Abaho yemuntu ow'okutaano okuvunaanibwa ku nsonga z'amabaati ge Karamoja .