Amagye galinze kuwabulwa kwa ssaabawolereza wa gav’t
Omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni agamba nti kyakusaalirwa nnyo kkooti ensukkulumu okusalawo okuyimiriza eby’okuwozesa abantu babulijjo abasangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka mu kkooti y’amagye.Mu kiwandiiko kyafulumizza olwaleero, Museveni agamba nti kkooti z’amagye ziyambye kinene okutaasa abantu babulijjo ku bantu abafuna n’okukozesa emmundu mu bumenyi bw’amateeka era awadde ekitundu kye Karamoja ng’ekyokulabirako, kkooti zino gye ziyambye okunyweza obutebenkevu mu kitundu. Olwaleero amagye nago gategeezezza nga bwegalina okuwabulwa kwa ssaabawolereza wa gavumenti okulaba ekiddako.