ANSEL HUGH JAMISON: Wuuno omuvubuka omumerika ayogera orukiga okukira abaayo
Emirundi mingi bannayuganda balabiddwako nga bawaalirira okuyiga ennimi engwira naddala oluzungu ng'abamu batuuka n'okulwatula mu njogera oba accent engwira. Wabula ekyewuunyisa, ate abazungu bano be beegomba ate bafuddeyo nnyo okuyiga ennimbi z'awano .Katukulage emboozi y'omuvubuka enzaalwa ya Amerika Ansel Hugh Jamison ayogera orukiga okukira n'abamu ku bantu baayo .Ono ne bazadde be bawangaalira ku kyalo Buhoma e Bwindi mu disitulikiti ye Kanungu era nga bamaze kuno emyaka 10.