Ebintu bya bukadde bitokomokedde mu muliro ogukutte e Masaka
Abatuuze mu katundu akamanyiddwa nga Kakyafu akasangibwa mu division ya Nyendo-Mukungw mu kibuga Masaka bali mu maziga oluvannyuma lw’omuliro okusaanyawo ebintu bya bukadde.Omuliro guno ogugambibwa nti gwavudde ku musubaawa, gwatandikidde mu dduuka lya Waragi . Kyokka abatuuze sibasanyufu n’engeri poliisi enzimya mwoto gye yadduukiriddemu embeera .