NAZZIKUNO: Laba engeri y’okuteekateekamu emmwanyi ez’emikolo
Emmwanyi kyakulya ekiwoomera abasinga obungi, wabula nga tebakigabula nga mmere nandiki okukiweera omugenyi ku kyaayi nti kyaba aliirako.Nazzikuno nga emwanyi etekateekebwa bulungi esobole okugabulwa ku mikolo egy’obuwangwa n'ennono era kya muzizo kumikolo egimu mu Buganda ne mu buwangwa obulala obumu okugenda mu maaso nga tebagabudde mwaanyi zino, kyoka tebazigabula nga mbisi basooka kuzifumba.Kale no olwaleero tugenda kukulaga engeri emwanyi eyeyambisibwa okukola ebyensonga gye yategekebwangamu.