Empaka z’amasomero; waliwo ageetegekera eza East Africa
Empaka za masomero ga siniya eza national secondary schools ball games one zaakomekerezeddwa ku lw'okubiri lwa wiiki eno era nga amasomero agawerako gaavuddeyo n'obuwanguzi mu mizannyo egy’enjawulo.Kati amasomero gonna agaatuuse ku luzannya lwa semi fayinolo mu mizannyo egyenjawulo geegagenda okukiikirira Uganda mu mpaka za East Africa ezimannyinddwa ennyo nga Feassa Games ezigenda okuggyibwako akawuuwo mũ myezi ebiri okuva kati.Mu gano mwe muli ne St. Cyprian High School Kyabakadde mu basketball w'abalenzi ababadde baasemba okwetaba mu mpaka zino mu mwaka gwa 2022.