ETTEEKA LYA UPDF: Oludda oluvuganya lwaakusalawo ku ky’olutuula lw’olwokubiri
Ab’oludda oluvuganya mu palamenti bateekateeka kutuula olunaku lw’enkya okusalawo ku kyokwetaba mu lutuula lwa Palamwenti olusuubira okuyisa ennongoosereza mu tteeka lya UPDF . Akulira oludda oluvuganya agamba bafunye endowooza ezikontana ku kyokwetaba oba obuteetaba mu lutuula luno kale nga balina okusalawo ekyenkomeredde . Ssenyonyi agamba nti obudde obuweereddwa ebbago lino bubadde butono nnyo okusobola okulyekeeneenya obulungi wabula nga kirabika gavumenti erina ebigendererwa ebikyamu nga yensonga lwaki eryanguyiriza .