Ataakulaba: Manya ku bikwata ku buvunaanyizibwa bw’okukuza omwana
Ku mulembe ogw’edda bwabanga buvunaanyizibwa bwa buli muntu mukulu ku kitundu okutendeka abaana mu empisa ennungi era omwana yabanga wa kitundu kyonna ssi oyo mukadde we yekka amuzaala. Abaana era baatendekebwamu mu mpisa nga balya era nga waaliwo n’amateeka agaagobererwanga ng’obutasooka kulya nnyama ng’emmere tennaba kugwawo. Kino kyekitundu kyaffe eky’okubiri ku nkukuza y’abaana mu mpisa ey’edda.