BAASUZE MU MPEWO: Abamu ku baakoseddwa enjega ye Kiteezi baasuze ku mbalaza
Kaweefube w'okuzuula abaabadde bakyawagamidde oluvannyuma lwa kasasirio okubuutikira amayumba e Kiteezi ne Lusanja yayimiriddemu ekiro nga kiteeberezebwa nti kyabadde kiva ku bbula ly'amataala agaabadde gayinza okukozesebwa okukola omulimu guno .Bbo abamu ku bantu abaakoseddwa, ekiro baakimaze bweru ku mbalaza z'amayumba agaasigaddewo so ng'abalala babudamiziddwa bariraanwa baabwe .