Biibino ebimu ku bikwata ku Sam Omala
Omuserikale Sam Omala yayatiikirira nnyo mu Kampala ng’omuserikale eyali tasiba zikweya bwe kituuka ku kugumbulula obwegugungo.Ono ne bannabyabufuzi bangi bamujjukira olw’enkola ye ey’emirimu n’engeri gye yabagumbululangamu.Kyokka Omala atuuse kufa, nga batono abamanyi gyenvudde we. Katulukuviire ku ntono.