BISHOP HANNINGTON :Ebifo bye eby’ebyafaayo bye bingi
Nga Bishop James Hannington amaze okuttibwa nga 29 October 1885, abamu ku bagoberezi be baasobola okudduka ku bambowa ne bawona okuttibwa. Oluvannyuma, bakaawonawo bano baasobola okudda mu kifo awattirwa Hannington ne baggyawo omulambo gwe ne bagwebagajja ssaako okutambula nagwo okuva e Mayuge okutuuka e Busia ne bagusaza n’ensalo ya Uganda okugutuusa e Mumias mu Kenya Hannington gye yava okujja mu Uganda. Mu lugendo lwabwe luno, waliwo ebifo bingi ebyebyafaayo bye baayitamu okuli n’omuti gwe baawummuzako omubiri gwe olw’okutya ensolo okugulya ogukyaliwo ne gye buli eno.