Bobi Wine alabudde abatanaba kwegaana ‘ssente z’okwekubako enfuufu’
Akulembera ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu, ayagala abalonzi mu bitundu ebikiikirirwa aba NUP, babateekeko akazito ku nsimbi obukadde ekikumi ezaagabibwa mu palamenti, bategeere webayimiridde. Kyagulanyi agamba nti palamenti eyenjebuka buli kaseera kubanga kumpi buli tteeka eritagasa bannansi lisooka kusasulirwa okuyita. Bino abyogeredde mu nsisinkano ne bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Kavule.