E Bukomansimbi abakulembeze baagala wassibwewo ensimbi ezenjawulo okudduukirira ebibamba
Abamu ku bakulembeze mu district ye Bukomansimbi baagala gavumenti eteekewo ssente ez’enjawulo zino nga zigendereddwamu okudduukirira amasomero agakosebwa ebibamba gamba nga kibuyaga, nagali mumbeera embi, bano bagamba nti amasomero ekika kino gateeka obulamu bw'abayizi mu matigga. Akulira ebyenjigiriza mu district eno agamba nti amasomero mukaaga ge gaakosebwa enkuba etonnya ensangi kyoka ate mwenda zikabuyonjo zaagwamu nga kati bali mu kutya obulwadde buva ku bukyafu.