E Bulambuli, amayumba agasoba mu 80 gonooneddwa enkuba
Abatuuze abasoba mu 500 okuva ku byalo 10 mu gombolola y’e Bumufunyi mu disitulikiti y’e Bulambuli ekiro kya leero baakusula bweru, oluvanyuma lw’enkuba omubadde embuyaga ekyaaludde okulabwako okugoya ekitundu kino. Tukitegedde enkuba eno teresse nnyumba eyimiridde, nga kuno etwaliddeko n’ebirime,ekitadde abatuuze mu bulabe bw’okulumbibwa enjala ani amuwadde akatebe.