E Butaleja, abaagobwa mu lutobazzi baweereddwa ente
Abakulembeze mu disitulikiti ye Butalejja bagamba nti ekiragiro kya Pulezidenti ekyokugoba abantu abaali balimira omuceere mu ntobazzi kiyambye nnyo okumalawo amataba agaali gakosa ekitundu kyabwe. Tukitegedde nti yiika 2500 omwali mulimwa omuceere kati zitandise okuddamu okufuuka okutobazzi, ekiyambye ennyo okulemesa amazzi okuddamu okukosa abatuuze. Kyoka abakulembeze bagamba nti ekyakanunulwa kitono nnyo ku square kilomita 644 ez’olutobazzi okulimirwa omuceere.