E Luwero bakubaganye empawa ku ngeri y’okunyweza eby’okwerinda
Poliisi eruubirira okulaba nga omwezi ogujja wegunaggwerako ng’enkola yaayo ey’okuteeka ebitebe byayo ku buli ggombolola eyitibwa Sub County Policing Model ngebunye eggwanga lyonna. Mu nkola eno Poliisi egenda kuteeka abaserikale baayo 18 ku buli gombolola, municipality oba town council abanakolanga ogw’okulawuna n’okwenganga obumenyi bwamateeka . Mu district y’e Luwero ekimu ku bitundu ebisingamu obuzzi bw’emisango mu ggwanga era ewabadde obulumbaganyi ku Poliisi n’abaserikale baayo obw’enjawulo, abayo bakubaganye empawa ku nkola eno. Wadde abamu bagiwagidde, abalala bagikubyemu ebituli nga Herbert Kamoga bwanyonyola mu mboozi eno.