E Ntebe waliwo abasuubuzi ba katale abeekalakaasizza
Abasuubuzi b'omukatale k'omubuulo mu bitundu by'e Ntebe bakedde kwekumamu gutaaka ne beeyiwa ku luguudo mu Kitooro ne bekalakaasa nga bawakanya eky'abakulu mu munisipaali y'e Ntebe okuyimiririza obutale bw'omubuulo nga tebabawadde nsonga.Tukitegedde nti mu matumbi,poliisi yazze nebowa emmaali ya bano gye babadde batekaateka okutunda olwaleero, era bano bagenze okukeera nga bakwata mu lya mpiki.Abakulu ku munisipaali batutegezeezza nti obutale buno babuwera okusobozesa ab'omubutale obwazimbibwa gavumenti okukola kubanga ab'omubuulo babatwalako abaguzi.