Ebibanja mu Nalubaale, waliwo akubye ssengenge ku mwalo
Abavubi abakakkalabiza emirimu gyabwe ku mwalo gw'e Kigungu mu district y'e Wakiso bali mukusoberwa oluvannyuma lw'ekifo webabadde bagolomolera amaato gaabwe okusibwaako ssengengenge. Tukitegedde nti bano baakedde ekifo kisibiddwa awatali yadde okunnyonnyolwa. Baliko munnansi wa Canada gwe balumiriza okukola kino. Basabye ekitongole ekivunaanyizibwa ku By'obuvubi kijje kibannyonnyole ekigenda mu maaso.