Ebibuuzo ku nfa ya Martha Ahumuza mu bbaala byeyongedde
Waliwo abasajja babiri poliisi mu Kampala b'egombyemu obwala, nga kigambibwa nti balina kya maanyi kye bamanyi ku nfa ya kasitooma waabwe mu bbaala ya Mezo Noir esangibwa e Kololo ku Lwokuna lwa wiiki gye tukuba amabega. Martha Ahumuza Murari ow'emyaka 23 yazirika n'afa oluvannyuma lw'ebigambibwa nti aliko eby'okunywa bye yanywa abamu bye balowooza nti byalimu obutwa. Ebbaala eyogerwako bino byonna mwe byali, wetwogerera bino nga nzigale nga n'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.