Ebikwata ku poliisi be yasse: Eby’abantu bana bifulumye; bannamateeka boogedde
Poliisi efulumizza ebikwata ku bamu ku bantu omukaaga be yakubye amasasi n'emiza omusu e Kamwokya ku bigambiwa nti baabadde bateeka okunyaga ensimbi ku muntu eyabadde ava mu bbannka. Ebifulumiziddwa biraga nti abattiddwa baabadde baakwatibwako ku byekuusa ku bunyazi wakati wa 2020 ne 2024. Bannamateeka bagamba nti kati Poliisi erina okukakasa bannayuganda nti ddala abantu abattiddwa baabadde bamenyi b'amateeka.