EBIPAPULA BYA POLIISI Y’EBIDDUKA; Abazze bamenya amateeka poliisi ebabanja buwumbi
Okutandika n'e Monday ya wiiki eggya Poliisi yakunyinyitiza ebikwekweeto eri ababanjibwa ssente eziva mu bipapula by'okuvoola amateeka g'okunguudo. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga ensimbi eziri eyo mu buwumbi omunaana zezitudde mu bipapula bino ebitanaba kusasulibwa .