Ebisaliddwawo birigwa ne banne: Abe Najjanankumbi bibawadde kibbo kya nseko
Ab'ekiwayi ky'ekibiina ki FDC eky’e Najjanankumbi basekeredde ebisaliddwawo ekiwayi kya FDC eky’e Katonga, ekituuzizza ttabamiruka olwaleero, mwebalondedde Lukwago ku bwa Pulezidenti. Kino kiddiridde olukiiko olwayitiddwa ssentebe w’ekibiina kino, Wasswa Birigwa olutudde ku Katonga road mu Kampala.