EBISOLO EBIFA E BUKOMANSIMBI :Abatuuze beraalikirivu, balowooza nti waliwo engo ebitta
Abatuuze ku kyalo Kayanja mu Gombolola y'e Kitanda mu District y'e Bukomansimbi basabye abavunaanyizibwa ku bisoro by'omunsiko okubayambako ku kisoro ekiteberezebwa okubeera engo ekibamalirawo ebisolo byabwe.Obulumbaganyi buno bwatandika ku sande ya wiiki ewedde ng'okusinga endiga zezitugiddwa nga beralikirivu nti bwekinava ku bisolo kyakudda ku bantu.