Eby’entambula ku nguudo, poliisi esabye abasaabaze okugiyambako
Poliise evunaanyizibwa ku bidduka, esabye abasabaaze mu mmotoka z’olukale okugiyambako mu kukwasisa amateeka mu kiseera kino mwebasuubirira abagoba abamu okuvugisa ekimama. Bano bawadde abasaabaze amagezi okukwata obutambi bw’abagoba abatefiirayo olwo babuweereze poliisi ebakoleko.