Eby’okwerinda by’olunaku, aba biici, wooteli n’ebbaala balabuddwa
Abebyokwerinda Entebbe bakkaanyizza obutawa muntu yenna kakalu ka police kasita akwatiibwa mu musango gwonna mu nnaku z'ebikujjuko. Okusinziira ku RDC w'e Entebbe Hakim Kiriggwa , baamaze dda okuta buli abadde mu kaduukulu ku misango emitonotono okusobola okufuna aw'okusibira abanaakwatibwa. Ab'ebyokwerinda era baweze abaana okuwugira mu nnyanja , bbaala eziwogganya endongo n'ebiragiro ebirala bye bawedde.