EBYA MUHAMMAD KABANDA: Waliwo alipoota eraze nti yazaalibwa n’ensigo emu
Poliisi etegeezezza nga Muhammand Kabanda abadde alumiriza okujjibwamu ensigo , bwekifuuse nti yazaalibwa n'ensigo emu. Kino kiddiridde okunoonyereza okwakoleddwa abasawo ba poliisi abakugu era nga alipoota ku kino yakoleddwa abakugu ku Dwaliro lya Kampala Imaging Centre era ng'omusawo waayo yayambyeko buyambi aba family okubataputira . Bino bijjawo ebyayogerwa Kabanda nga alumiriza eddwaliro lya Old Kampala okumujjamu emu ku nsigo ye bweyatwalibwayo okujjanjabibwa. Wabula poliisi egamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.