EDDAGALA ERIVA MU MUSAAYI: Uganda eriko ekirungo ky’etwala e South Africa
Uganda eteekateeka okutwala ekirungo ekibeera mu musaayi ekiyitibwa Plasma e South africa nga kino kyakulolebwamu edddagala eryetaagisa ennyo naddala ku bantu abafuna obuzibu nebavaamu omusaayi ogutasalako , oba abalina ekirwadde ekyekuusa ku mbeera eno . Ekirwadde kino kityitibwa hemophilia. Okusinziira ku Dr Dorothy Kyeyune nga yakulira Ekitongole ekikola ku by'okukungaanya omusaayi mu Ggwanga ki Uganda Blood Transfusion Services, ekirungo kino kyakutwalibwa e South africa mu mbeera gyekibeeramu mu musaayi gw'omuntu olwo kirongosebwe likomewo nga eddagala .