Ekibuga kya Mubende kyonna tekirina kabuyonjo ya lukale
Abatuuze mu kibuga kye Mubende beralikirivu nti bandikwatibwa endwadde eziva ku bujama, nta entabwe eva ku butaba na kaabuyonjo za lukale mu munisipaali yonna. Abatuuze naddala abakolera mu kibuga kino batugamba nti tebalinna webayinza kweyambi, nga ne kabuyonjo emu gyebaalina yamenyebwa nga efuuse ya bulabe eri abantu. Abakulembeze bagamba nti ekizibu kino bakimanyi, naye nga balina entekateeka yokuzimba kaabuyonjo ezolukale ate nga ziri ku mulembe.