Eky’okuwa ekibira Gunda musigansimbi kitabudde bakkansala, bagenda mu kkooti
Olukiiko lwa district y’e Wakiso lwayisizza ekiteeso okuddukira mu kkooti okuwawaabira minista omubeezi ow'ebyettaka Sam Mayanja nga bamuvunaana okwewa obuyinza okugaba ettaka ku kibira kya Ggunda awatali kubebuzaako wadde okugoberera emitendera. Bano bagamba nti emirundi mingi ekibira kino kizze kyegezebwamu okutwalibwa bamusiga nsimbi kyokka nga bakiremesa kyokka kyabaweddeko Minister Mayanja Weyabawandikidde nga abategeeza nga ekibira kino bwekyawereddwayo eri bamusinga nsimbi okukulakulanya ettaka lyakyo. Bagamba nti obuyiza bwa district mukukuuma ekibira kino bwabuusiddwa amaaso.