Ekyuma ekisunsula kasasiro e Mbale kimaze emyaka 3 nga tekikola
Embeera y’obukyafu olwa kasasiro atayoolebwa mu mbale City eyongedde okusajjuka olw’ekifo kasasiro ono walina okusunsulibwa okukolebwamu ebintu ebirala nga manure obutakola kati okumala emyaka esasu. Ekifo kino ekyaweebwayo ab NEMA kati kyonna kikwatiridde akasiko nga nababbi tebakiweeza nga era geeti, agamu ku mabaati n’olukomera lwa waya lwonna lukanduddwa. Abatwala Ekibuga kino baagala bongerwe ku bimotoka ebisomba kasasiro okunogera ekizibu kya kasasiro kino eddagala.