Emiranga e Bunambutye, enkuba esudde weema omusula ababundabunda
Abantu abaasimatuka okubumbulukuka kw’ettaka e Bulambuli ne batwalibwa mu gombolola ye Bunambutye wetwogerera bali mu kuyagga. Kyaddiridde kibuyaga okumenya weema mwe babadde basula. Kiddiridde nnamutikwa w’enkuba eyatonye akawungeezi k’eggulo, eyalese weema saatu ennena mwebasula nga ziri ku ttaka n’abantu musanvu ne bafuna ebisago ebyamaanyi. Batubuulidde nti ekiro ekikeeseza olwaleero baasuze mu mpewo.