EMIRIMU MU BUWARABU: Gav’t yaakutandika okutwala abalina obukugu
Gavumenti etegeezezza nga bwetandise enteekateeka z’okutwaala abantu abalina obukugu mũ mirimu ej’enjawulo mũ mawanga g’abawarabu.
Okusizniira ku minsita omubeezi ow’ekikula ky’abantu Esther Anyakun, nti ababade batwalibwa okukuba ekyeeyo babadenga bakozi b’amawaka ng’abasinga ku bbo bafuniddeyo obuzibu n’abamu nebafiirayo.
Anyakun abadde alambulula ku by’okuzza bannaUganda wansi w’ekiisonyiwo ekyassibwawo gavumenti z’Abawarabu eri abagwiira abakonkomaliddeyo mu bumenyi bw’amateeka.