EMITWE GYA TRAIN EGYAGULWA :Akakiiko ka Ssenyonyi si kamativu
Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nkola y'emirimu gy'ebitongole bya gavumenti nakati kakyakalambidde nti emitwe gyeggaali y'omukka egyagulibwa gyebuvuddeko tegirina wegisobola kukyukira , nga kino kiringa okwali okwonoona ensimbi z'omu w'omusolo .Bano olwaleero balambudde ekifo ky’eggaali y'omukka ekisangibwa e Nalukolongo.Wabula bbo abakulira eggaali y'omuka basuubizza ababaka nti mu bbanga lya ssabiiti bbiri embeera ejjakuba etereezeddwa nga emitwe gisobola bulungi okuyungibwa ku byaana byeggali y'omukka bwezityo zikole ogwazo.