EMPAKA Z’OKUBAKA :Namulumba yeesunze okwetaba mu z’e Bungereza
Omuteebi wa ttiimu y’eggwanga ey’okubaka the She Cranes Christine Namulumba y’omu ku beesunze okuttunka mu mpaka za Netball Nations Cup ezinabeera e Bungereza okuva nga February 1-19 . Ôno agamba nti obumanyirivu bwe bafunye mu mpaka ez’enjawulo ze beetabyemu bwakubayamba okukuba amawanga okuli Bungereza, South Africa ne Malawi ge bagenda okuttunka nabo mu mpaka zino.