Empaka Za Ddigi: Ttiimu ya Uganda esiibuddwa
Tiimu ya Uganda mu muzanyo gwa Pikki piki z'empaka olwaleero esiibuddwa okugenda okweetaba mu mpaka za East and Central African Motorcross Championships ezigenda okubeela e Mombasa weekendi eno. Uganda yayingira empaka zinno oluvanyuma lwo'kuwangula Round esooka eyaali e Masaka mu mwezi ogwo kusatu, ng'era e mapaka zino zakweetabwamu ensi endala nga Kenya,Tanzania, Rwanda ne Burundi.