Okukuumira omwana omuwala mu sssomero:Waliwo abayizi abyamabye bannabwe
Nga tukyagenda mu maaso n’e mboozi z’ebyenjigiriza e Kabarole,leero tugenda kulaba omuwala akola kyonna ekisoboka okulaba nga banne bafuna omukisa nabo ogusoma. Omu ku bawala bano Hope Katusabe aliko emirimu gy’emikono gy’ayigiriza banne ate omulala yatandika ekibiina okusomesa banne ku neeyisa egwana mu bantu.