ENKALU KU BULABIRIZI BW’E LUWEERO: Ekanisa bannamatteeka egenda kubasasula bukadde
Omuwandiisi w'ekitebe ky'ekanisa ya Uganda Rev. Canon William Ongeng aliko ebaluwa gyawandikidde omulabirizi w’e Luwero ow’ekiseera Rt. Rev. James William Sebaggala ng’amutegeeza okusasula ebbanja lya bukadde 18 eza looya eyawoza omusango Ssaabalirizi w’ekanisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu gweyawawabirwa mu kooti ng’avunaanibwa okusazaamu eyali alondeddwa ng’omulabirizi wa Luwero ow’okuna Canon Godfrey Kasana Ssemakula.