Ensalo y’e Busia egaddwa, abakozi bekalakaasa lwa musolo
Mmotoka eneetissi z'ebyamaguzi ezisoba mu 500 zikyakonkomalidde ku nsalo ya Uganda ne Kenya nga kino kiddiridde abakozi ku ludda lwa Kenya abakola ku byamaguzi ebiyingira eggwanga eryo okussa wansi ebikola.Bano bawakanya omusolo ogwateereddwa ku mmotoka z'ebyamaguzi eziyingira Kenya gwe bagamba nti munene nga kiremeseza abasubuuzi okukozesa ensalo eno nebasalawo okugenda e Malaba.Bagamba nti kino kibalesse nga tebakyalina mirimu gya kukola ekiyinza okuviirako bakama baabwe okubawummuzza nga balaba nti babasasulira bwereere.