ENSOMA EMPYA:Okunoonyereza kwa Mukhaye kulaga nti tennannyikira
Okunoonyereza munnamawulire wa NMG Damali Mukhaye kweyakoze okusobola okufuna diguli ye ey'okubiri muby'empuliziganya, kulaga nti ensoma empya eya siniya eyawansi tennategeerekeka bulungi mu bitudu byebyalo . Mukhaye nga y'omu ku bayizi abatikkiddwa olwaleero e Makerere ayagala gamenti eyongere amaanyi mu kunnyikiza ensoma eno . Olwaleero amattikira g'e Makerere agomuloundi ogwe 75, lwegakommekkerezeddwa