Envumbo ku ngatto: Ababaka ba EALA batadde baminisita b’amawanga ku nninga
Ababaka mu palamenti y’omukago gwa East Africa baagala amawanga mu mukago guno gasse envumbo kukugula engatto eziva ebweru wa mawanga gano mpozi n’ebintu ebirala ebivaamu maliba. Ekiteeso kino kireeteddwa Omubaka wa Kenya David Sankok Ole ng’ayagala baminisita ba mawanga bakisse mu nkola kubanga kyayisibwa dda Ekigendererwa ono agamba nti kyakuyamba okutumbula amakolero agakola engatto n’ebintu ebiva mu.