Eyafiira e Saudi Arabia, famire ye esabye gav’t egiyambe okuzza omulambo gwe
Famire ya Milly Namutamba , omukazi eyafiira ku kyeyo e Saudi Arabia gyebuvuddeko, eyagala gavumenti yakuno egiyambeko okuzza omulambo gwe kuno basobole okuguziika. Kino kiddiridde kkooti okulagira kkampuni ya Horeb eyatwala omukazi ono ebweru okusasula famire ye obukadde 250. Yadde nga baayanirizza ensala y'omulamuzi abamu ku balwanirira eddembe lyabankuba kyeyo bagamba nti ne gavumenti esaanye okubitebya kubanga ekwatibwako buteereevu.