Eyasoma obwa 'nnansi' kati atunda manda
Mu disitulikiti ye Busia waliwo Mercy Ajambo gwetutegedde nti yasoma busawo kyoka nga kakano akeera kutunda manda, olwokubulwa omulimu bukyanga attikkirwa. Ajambo nti yatikkirw obuwaso ku daala elya enrolled nurse mu mwaka 2017, kyoka okuva olwo azze anonya emirimu. Ekisinga okumuluma kwekuba nti disitulikiti y’e Busia gyawangaliramu terina basawo , wabula nga newankubadde yye ne banne bazze basaba emirimu naye tebagibawa.