Eyawaguza okusisinkana Museveni agamba yali taddamu bbaluwa z’amuwandiikira
Omuvubuka Yoram Baguma avunaanwa ogw’okugezaako okulumbagana omukulembeze w’e ggwanga bweyali ku lukungaana lw’ebyobufuzi ku kisaawe kya Kawempe mbogo ,akkiriza omusango gw’okunyiiza omukulembeze w’e ggwanga ogumu ku misango esatu egyamugguddwako mu kooti esookerwako ey;’e Kawempe olunaku lw’eggulo. Abuulidde kooti nti teyalina kigendererwa kya kulumya mukulembeze wa ggwanga,wabula abadde aludde ng’awandikira pulezidenti ng’amusaba okumusisinkana kyoka nga tamuddamu - kale bweyamulaba e Kawempe kwekusalawo amutuukeko ku mpaka.
Ono yagguddwako e misango esatu okuli okunyiiza omukulembeze w’eggwanga, okugaana okugondera amateeka n'okulumya omuserikale, nga gyonna yagizza nga 11 omwezi oguwedde. Emisango egyimuvunaanwa singa gyimukka mu vvi yandiweebwa ekibonerezo kya kusibwa mayisa.