FULUMA OMUZIKITI: Abasiraamu e Masaka batutte Sheikh Kakomo entyagi
Wabadewo okugugulana ku muzikiti omukulu e Masaka, abasiramu bwebabadde bagoba omu ku bakulu mu nzikiriza eno Sheikh Yasin Kakomo. Kakomo babadde bamulanga kutiisatisa kugyawo bulamu bwa Imam w'omuzikiti ogwo Abasi Nseera. Wabula poliisi oluvannyuma ebiyingiddemu Sheikh Kakomo taludde neyemulula okuwona okutaguulwa abasiramu ababadde balabika nga besomye.