Gav’t yaakutandika okugema abantu M-Pox omwezi ogujja
Aba Minisitule y'ebyobulamu bategeezezza nga bwe bagenda okutandika okugema ekirwadde ki M-POX omwezi ogujja mu kaweefube w'okukirwanyisa era nga wiiki ejja basuubira okufuna Ddoozi eziwera omutwalo mulamba. Wetwogerera ng'ekirwadde kino kyongedde okwegiriisa mu Kampala era nga Kawaala n'e Bwaise kati ntabiro yaakyo. Ab'ebyobulamu basabye abaddukanya ebifo ebisulwamu naddala loogi okugoberera ebiragiro by'okwerinda ekirwadde ki M-POX.